Mark 11:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baawulira, ne banoonya amagezi ag'okumuzikiriza, kubanga baali bamutya, kubanga ekibiina kyonna kyali kiwuniikirira olw'enjigiriza ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basala amagezi ag'okuzikiriza Yesu. Baali bamutidde, kubanga ekibiina ky'abantu kyonna kyali kiwuniikiridde olw'enjigiriza ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.