Mark 11:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso; mangu awo nga mwakayingira, mujja kusanga akalogoyi akasibiddwa, akateebagalwangako muntu n'omu, mukayimbule mukaleete.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abalagira nti, “Mugende mu kyalo ekituli mu maaso, bwe munaaba mwakakituukamu mujja kulaba omwana gw’endogoyi oguteebagalwangako nga gusibiddwa awo. Mugusumulule mugundeetere wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangwago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugisumulule mugireete.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangu ago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete.