Mark 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bayitawo enkeera, ne balaba omukunyu nga gukaze okutuuka ku mirandira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo enkeera ku makya, bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera ku makya, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bayitawo, ne balaba omuti omutiini guli nga gukaze okuviira ddala ku kikolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe bwakya enkya bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala.