Mark 11:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka, weesuule mu nnyanja,’ nga tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula ng'akkiriza nga kyonna ky'anaagamba kinaatuukirira, kirimukolerwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti, ‘ Sigulibwa, osuulibwe mu nnyanja;’ nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiriza nga ky'ayogera kikolebwa, alikiweebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti singa omuntu agamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja, kino kirimukolerwa, kasita tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula n'akkiriza nti ky'agamba kinaatuukirira.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti Sigulibwa; osuulibwe mu nnyanja; nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiza nga kyayogera kikolebwa, alikiweebwa.