Mark 11:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamugamba nti: “Ebyo obikozesa buyinza ki? Ani yakuwa obuyinza obw'okukola ebyo by'okola?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bamugamba nti, “ Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza buno okubikola”?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bamugamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?