Mark 11:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wabaawo abagamba nti: ‘Mukola ki?’ mugamba nti: ‘Omukama akeetaaga; ajja kukasindika wano mangu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuntu yenna bw’ababuuza gye mugutwala, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’agwetaaga, era tujja kugukomyawo mangu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'abagamba nti, ‘Mukola ki ekyo?’ mugamba nti, ‘Mukama waffe ye agwetaaga;’ amangwago anaaguweereza eno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki endogoyi mugisumulula?’ Muddamu nti: ‘Mukama waffe agyetaaga, era ajja kulagira bagizze mangu wano.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'abagamba nti Mukola ki ekyo? mugamba nti Mukama waffe ye agwetaaga; amangu ago anaaguweereza eno.