Mark 11:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti: “Bwe tugamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kubuuza nti: ‘Awo nno lwaki temwamukkiriza?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu;’ anaagamba nti, ‘ Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Tuddemu nti: Katonda ye yamutuma? Anaatubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?