Mark 11:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tugambe nti: ‘Yava mu bantu?’ ” Naye nno baali batya abantu, kubanga bonna baali bakkiriza nga Yowanna yali mulanzi ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tugambe nti, ‘Kwava mu bantu? ’ ” Baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba tuddemu nti: abantu be baamutuma?” Kino ne bakitya: kubanga abantu bonna baali bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu - baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi.