Mark 11:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kuddamu Yezu nti: “Tetumanyi.” Ne Yezu n'abagamba nti: “Nange siibabuulire buyinza bunkoza ebyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.” Awo Yesu n’abaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti, “ Tetumanyi.” Yesu n'abagamba nti, “Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Kale nno nange siibabuulire buyinza bwe nnina okukola ebintu bino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti Tetumanyi. Yesu n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.