Mark 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bagenda, ne basanga akalogoyi nga kasibiddwa ebweru ku mulyango mu masaŋŋanzira, ne bakasumulula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaatumibwa ne bagenda, ne balaba omwana gw’endogoyi nga guyimiridde ku luguudo, naye nga gusibiddwa ku muguwa wabweru w’ennyumba. Bwe baali bagusumulula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagenda, ne basanga endogoyi entoototo esibiddwa ku mulyango, ng'eyimiridde wabweru mu luguudo, ne bagisumulula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula.