Mark 11:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo, n'abalala amatabi okuli amakoola ge baali bamenye ku ttale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bangi abaali mu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo mwe yali agenda okuyita, abalala ne bamenya amatabi g’emiti mu nnimiro ezaali okumpi, nago ne bagaalira mu luguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bangi ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne baaliiramu obutabi bw'emiti obuliko amakoola, bwe baatema mu nnimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro.