Mark 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali bakulembeddemu n'abaali bagoberera ne bakuba emizira nga bagamba nti: “Hosanna! Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaali mu maaso ge n’abaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti: “Ozaana!” “Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama! ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaali bakulembedde n'abaali bava emabega ne boogerera waggulu nti, “ Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaali bakulembedde, n'abaali bava emabega, ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Mukama atenderezebwe.” Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaali bakulembedde n'abaali bava ennyuma ne boogerera waggulu nti Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: