Mark 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'atandika okwogera nabo mu ngero nti: “Omuntu omu yasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agisibako olukomera, n'asimamu ekinnya ky'essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agikwasa abalimi, n'agenda ku ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’atandika okwogera nabo mu ngero, ng’agamba nti, “Waaliwo omusajja eyalima ennimiro y’emizabbibu, n’ateeka olukomera okugyetooloola, n’ateekamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agifuniramu abalimi abaagipangisa, n’agenda olugendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'atandika okwogerera nabo mu ngero ng'agamba nti, “ Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alwetooloozako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisa abalimi, n'agenda mu nsi endala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'atandika okwogera nabo mu ngero, n'agamba nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala abakuumi mwe balengerera, n'agissaamu abapangisa n'alaga mu nsi ey'ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atanula okwogerera nabo mu ngero. Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusibako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisaamu abalimi, n'atambula mu nsi endala.