Mark 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyawandiikibwa kino temukisomanga nti: “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka lukulwe mu nsonda;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temusomangako byawandiikibwa nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ekyawandiikibwa mwali mukisomye ekigamba nti: ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda: