Mark 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bajja, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, nga teweeguya muntu; obukulu bw'omuntu si bw'otunuulira, wabula ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda. Kale nno, kisaanye okuwa Kayisari omusolo, nandiki tekisaanye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe bajja, ne bamugamba nti, “ Omuyigiriza, tumanyi ggwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bajja ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Kaakati ssebo, tubuulire, kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe bajja, ne bamugamba nti Omuyigiriza, tumanyi ggwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?