Mark 12:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuwe oba tetuwa?” N'ategeera enkwe zaabwe, n'abagamba nti: “Munkemera ki? Mundeetere dinaari ndabe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’ategeera obunnanfuusi bwabwe n’abagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tuwengayo, oba tetuwangayo?” Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti, “ Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuteekwa okugumuwa oba tetuteekwa?” Yesu n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti: “Lwaki munkema? Mundeetere ssente ngirabe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tuwengayo, oba tetuwangayo? Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe.