Mark 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muyigiriza, Musa yaleka atuwandiikidde nti singa muganda w'omuntu afanga n'aleka omukazi, naye n'ataleka baana, muganda we awasanga omukazi oyo n'asibusiza muganda we ezzadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga tazadde mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'azaalira muganda we abaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga talese mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'assizaawo muganda we ezzadde.