Mark 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa omukazi, n'afa nga talese mwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, nga talese baana;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, n'atalekaawo zzadde;