Mark 12:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'abaanukula nti: “Si kyemuva musobya olw'obutamanya Biwandiiko yadde obuyinza bwa Katonda?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Muwubwa, era ekibaleetera okuwubwa, bwe butamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda?