Mark 12:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumanya ng'abafu balizuukizibwa, temusomangako mu kitabo kya Musa, we boogerera ku kisaka, Katonda nga bwe yamugamba nti: ‘Nze Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, ne Katonda wa Yakobo’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti, ‘ Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, ddala mwali musomye mu kitabo kya Musa, mu kitundu ekyogera ku kisaka, Katonda bye yagamba Musa nti: ‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo’.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo?