Mark 12:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu ku bawandiisi eyali awulidde bwe bawakana, bwe yalaba abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisooka mu byonna?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti, “ Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku bannyonnyozi b'amateeka n'ajja, n'awulira Abasaddukaayo nga bawakana. Bwe yalaba nga Yesu abazzeemu bulungi, naye n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?