Mark 12:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ekyokubiri kye kino: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’ Teri kiragiro kirala kikira ebyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eryokubiri lye lino nti, ‘ Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiragiro ekiddirira mu bukulu, kiikino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wennyini.’ Teri kiragiro kirala kisinga bino bukulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ery'okubiri lye lino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.