Mark 12:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwandiisi n'amugamba nti: “Ky'ekyo, Muyigiriza; oyogedde mazima, nti ali omu, teri mulala okuggyako ye;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omunnyonnyozi w’amateeka n’agamba nti, “Omuyigiriza ekigambo ky’oyogedde kya mazima bw’ogambye nti waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwandiisi n'amugamba nti, “Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu. So tewali mulala wabula ye:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, ozzeemu bulungi. Ky'ogambye kya mazima nti: Katonda ali omu yekka, teri mulala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwandiisi n'amugamba nti Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu so tewali mulala wabula ye: