Mark 12:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, era nti n'oli okwagala munne nga bwe yeeyagala yennyini, kye kisinga ebitambiro byonna ebyokye n'ebyonziira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala ffe ffennyini, kusinga ensolo zonna eziweebwayo okwokebwa nga nnamba, era n'ebirala byonna ebiweebwayo eri Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.