Mark 12:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yalaba ng'azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tobuli wala.” Era tewali n'omu yageza nate kumubuuza kibuuzo kirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yalaba ng’omusajja azzeemu n’amagezi n’amugamba nti, “Toli wala n’obwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu n’omu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti, “ Toli wala obwakabaka bwa Katonda.” Awo ne wataba muntu ayaŋŋaanga okumubuuza nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yalaba ng'omunnyonnyozi w'amateeka azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Otandise okutegeera eby'omu Bwakabaka bwa Katonda.” Ne wataba aguma kumubuuza bibuuzo birala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti Toli wala obwakabaka bwa Katonda. Awo ne wataba muntu ayaŋŋanga okumubuuza nate.