Mark 12:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali ayigiriza mu Kiggwa, Yezu n'agamba nti: “Abawandiisi basobola batya okugamba nti: Kristu mwana wa Dawudi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yali ng'ayigiriza mu Yeekaalu n'abuuza nti, “Lwaki abawandiisi bagamba nti, Kristo mwana wa Dawudi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza, n'abuuza nti: “Abannyonnyozi b'amateeka bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'agamba ng'ayigiriza mu yeekaalu nti Abawandiisi ekibagambya ki nti Kristo mwana wa Dawudi?