Mark 12:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Dawudi yennyini, ku bwa Mwoyo Mutuukirivu agamba nti: “ ‘Omukama yagamba Mukama wange, nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa abalabe bo lwe ndibassa wansi w'ebigere byo.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti, “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti, “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo.” ’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti, “Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.