Mark 12:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abakaliza ennyumba za bannamwandu, ne beefukuutiriza essaala empanvu. Balifuna ekibonerezo ekisingako obukambwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.