Mark 12:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu yali atudde mu maaso g'eggwanika ng'atunuulide ekibiina bwe kisuula ensimbi mu ggwanika; abagagga bangi nga basuulamu nnyingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula ensimbi mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali ng'atudde mu maaso g'ekifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo, n'alaba abantu bangi nga bateekamu ensimbi. Abagagga bangi baateekamu ensimbi nnyingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula effeeza mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi.