Mark 12:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga bonna basuddemu nga baggya ku bibafikkiridde, sso ng'ono mu bwavu bwe ataddemu kyonna ky'abadde nakyo, kyonna ekibadde eky'okumuliisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo bataddemu nga batoola ku kingi kye balina. Naye nnamwandu ono omwavu, ataddemu kyonna ky'abadde alina, ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo; bwe bulamu bwe bwonna.