Mark 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno yalinayo omulala, mutabani we omu omwagalwa, n'amubatumira ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamutya.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yali asigazzaawo omu yekka ow’okutuma, ye mutabani we omwagalwa. Bw’atyo n’amutuma gye bali ng’agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali asigazzaawo omu yekka ow'okutuma, ye mutabani we omwagalwa, bw'atyo n'amutuma gyebali, ng'agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yali akyalinawo omuntu omulala omu, ye mutabani we omwagalwa. Ono gwe yasembyayo okubatumira, ng'agamba nti: ‘Mutabani wange banaamussaamu ekitiibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali ng'alina omu, omwana omwagalwa: oluvannyuma n'amutuma gye baali, ng'agamba nti Banassaamu ekitiibwa omwana wange.