Mark 13:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali afuluma mu Kiggwa, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja amakula! Laba ebizimbe amakula!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yafuluma mu Yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yali ng'ava mu Ssinzizo, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja n'ebizimbe ebyewuunyisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yafuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.