Mark 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era bwe muliraba ekyenyinyalwa ekizikiriza nga kiri we kitasaanidde kubeera, asoma bino ategeere, olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asoma ategeere) kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe muliraba ekintu eky'omuzizo ekyenyinyalwa nga kiteekeddwa we kitandibadde (oyo asoma bino ategeere), olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya baddukire ku nsozi;