Mark 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mu nnaku ezo mulibaamu ebibonoobono bingi, ebitabangawo okuva mu masooka g'okutondebwa Katonda lwe yatonda n'okutuusa kati, era tebiribaawo nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityo kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, era teziriddamu nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ebintu, okutuusa kati. Era tewaliddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityi kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, so teziriba.