Mark 13:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era singa Omukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonye muntu n'omu; naye olw'okubeera abalondemu abo be yeeroboza, ennaku ezo yazikendezaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose muntu yenna, naye olw'abalonde be yalonda yazisalako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa Katonda teyakendeeza ku nnaku ezo, ez'okubonaabona, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu be, ennaku ezo yazikendeezaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose mubiri gwonna: naye olw'abalonde be yalonda yazisalako ennaku.