Mark 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno bwe wabangawo abagamba nti: ‘Laba, Kristu wuuno wano,’ oba nti: ‘Laba, wuuli wali!’ temukkirizanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali wali; temukkirizanga:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano,’ oba nti: ‘Ali wali,’ temukkirizanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali eyo; temukkirizanga: