Mark 13:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu nnaku ezo, ebibonoobono bwe biriba byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko, “ ‘enjuba eriggyako ekizikiza, era n’omwezi teguliyaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nnaku ezo, ng'ekiseera eky'okubonaabona kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erizikizibwa n'omwezi tegulyaka musana gwagwo,