Mark 13:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alituma bamalayika be ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva mu njuyi ennya, okuva ensi gy'ekoma okutuuka eggulu gye likoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alituma bamalayika mu njuuyi zonna ennya ez'ensi, okukuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.