Mark 13:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mulabire ku mukunyu: ettabi lyagwo bwe lidda obuto, ne lissaako amakoola, mutegeera ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era muyigire ku mutiini, ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulabire ku muti omutiini muyige. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera mutegeera ng'omwaka guli kumpi