Mark 13:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiri ng'omuntu eyali agenda olugendo, bwe yali ava awaka, obuvunaanyizibwa n'abukwasa abaweereza be, buli omu omulimu gwe, n'omuggazi n'amulagira okutunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe, n'alagira omuggazi okutunula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kino kifaananako n'ekyo omuntu ky'akola ng'agenda okutambula olugendo. Bw'aba ava awaka, aleka akwasizza buli muddu we omulimu gw'anaakola, n'omuggazi n'amulagira okukuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe n'alagira omuggazi okutunula.