Mark 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale bwe muwuliranga entalo n'eŋŋambo z'entalo, temwekanganga. Ebyo tebirirema kubaawo; naye yo enkomerero eriba tennatuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo, temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe muwuliranga entalo wano ne wali, temutyanga. Zino ziteekwa okugwawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo; temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.