Mark 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo musisi mu bifo ebimu, n'enjala erigwa; naye ebyo byonna kwe kusookereza kw'okulumwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obwakabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo okukankana kw'ensi mu bitundu bingi, era enjala erigwa. Olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obw'akabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.