Mark 14:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo bwe baawulira, ne basanyuka, ne bamulazaanya okumuwa ensimbi. Ye n'anoonya akakisa amuweeyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baawulira ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'anoonya ebbanga wanaamuliramu olukwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona bwe baawulira ky'ayagala okubakolera, ne basanyuka, era ne basuubiza okumuwa ensimbi. Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baawulira, ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'asala amagezi bw'anaalaba ebbanga okumuwaayo.