Mark 14:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali batudde nga balya, Yezu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti munnammwe omu, alya nange, ajja kumpaayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baali batudde nga balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti omu ku mmwe alya nange kaakati, anandyamu olukwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe;