Mark 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali balya, Yezu n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agubawa, ng'agamba nti: “Mukwate, kino mubiri gwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti, “Mutoole; guno gwe mubiri gwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu n'abawa, n'abagamba nti: “Mutoole mulye, kino gwe mubiri gwange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti Mutoole; guno gwe mubiri gwange.