Mark 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simoni omugenge, ng'atudde alya, omukazi n'ajja ng'alina n'akasumbi k'alabasiteri ak'omuzigo ogwa narudo omwereere, ogw'omuwendo; n'ayasa akasumbi k'alabasiteri, omuzigo n'agumufuka ku mutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwa Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde, alya, mu kiseera ekyo omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo. N'asaanukula eccupa eyo, omuzigo n'agufuka ku mutwe gwa Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwe.