Mark 14:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye n'ayogera ng'akaalaamuse nti: “Ne bwe nnaaba ndi wa kufa wamu naawe, sijja kukwegaana.” Na bonna ne boogera bwe batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’akiggumiza nnyo ng’agamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abalala bonna ne beerayirira bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” Era bonna ne bagamba bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Peetero n'addamu n'akakasiza ddala nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. Era bonna ne bagamba bwe batyo.