Mark 14:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda mu kifo ekiyitibwa Getisemani; n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, nze nga bwe neegayirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano mmale okusaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, nga nze neegayirira Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano mmale okusaba.