Mark 14:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atoolako Petero, Yakobo ne Yowanna, n'agenda nabo. N'asooka okutya n'okukabirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; n’atandika okweraliikirira n’okuteganyizibwa mu mutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atandika okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atwalako Peetero ne Yakobo ne Yowanne, n'atandika okutya ennyo n'okweraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atanula okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo.