Mark 14:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Abba, Taata, anti byonna ku ggwe bisoboka; ekikompe kino kimpiteko; naye si nze kye njagala, wabula ggwe ky'oyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nzigyako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'agamba nti: “Kitange, oyinza byonna. Nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona. Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nziyaako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.